Matthew 2

Okukyala kw’Abagezigezi

1 aYesu bwe yazaalibwa mu kibuga Besirekemu eky’omu Buyudaaya, ku mulembe gwa Kabaka Kerode, abasajja abagezigezi, abaava ebuvanjuba ne bajja mu Yerusaalemi, nga babuuza nti, 2 b“Aliwa eyazaalibwa nga Kabaka w’Abayudaaya? Kubanga twalaba emmunyeenye ye nga tuli mu buvanjuba, era tuzze okumusinza.”

3Awo Kabaka Kerode bwe yabiwulira ne bimweraliikiriza nnyo, era ne bonna abaali mu Yerusaalemi. 4N’ayita bakabona abakulu bonna n’abawandiisi b’amateeka n’abeebuuzaako ekifo Kristo gye yali agenda okuzaalibwa. 5 cNe bamuddamu nti, “Mu Besirekemu eky’omu Buyudaaya, kyawandiikibwa nnabbi nti,

6 d“ ‘Naawe Besirekemu ekya Yuda,
toli mutono mu balangira ba Yuda,
kubanga omufuzi aliva mu ggwe,
alifuga abantu bange Isirayiri.’ ”
7Awo Kerode n’atumya Abagezigezi kyama, n’ababuuza ebiro emmunyeenye bye yalabikiramu. 8N’abasindika e Besirekemu ng’agamba nti, “Mugende mubuulirize ebikwata ku mwana. Bwe mumulaba, mukomeewo muntegeeze, nange ŋŋende musinze!”

9Bwe baamala okuwulira Kabaka bye yabagamba ne bagenda. Bwe baafuluma, emmunyeenye eri gye baalaba ebuvanjuba n’eddamu okubalabikira n’okubakulembera, okutuusa lwe yayimirira waggulu Omwana w’ali. 10Bwe baalaba emmunyeenye ng’eyimiridde, essanyu lyabwe ne libeera lingi nnyo! 11 eBwe baayingira mu nnyumba
nnyumba: abasajja abagezi tebaakyalira Yesu mu kiraalo ky’ente ekiro lwe yazaalibwa. Bajja wayiseewo ebbanga, kyebaava bamusanga mu nnyumba ng’ali ne nnyina. Newaakubadde ng’ebirabo byali bisatu, tekitegeeza nti abasajja abagezi baali basatu oba nti baali bakabaka.
ne balaba Omwana ne Maliyamu nnyina ne bavuunama ne basinza Omwana. Ne basumulula ensawo zaabwe, ne bamutonera ebirabo, zaabu, n’obubaane n’omugavu.
12 gAwo bwe baalabulibwa mu kirooto baleme kuddayo wa Kerode, bwe batyo ne baddayo ewaabwe nga bayita mu kkubo eddala.

Okuddukira e Misiri

13 hAwo abagezigezi bwe baamala okugenda, malayika wa Mukama n’alabikira Yusufu mu kirooto n’amugamba nti, “Golokoka oddusize Omwana ne nnyina e Misiri, mubeere eyo okutuusa lwe ndibalagira okudda. Kubanga Kerode ajja kunoonya Omwana ng’ayagala okumutta.” 14Ekiro ekyo n’asituka n’atwala Omwana ne nnyina e Misiri. 15 iNe babeera eyo okutuusa Kerode bwe yafa. Mukama kye yayogerera mu nnabbi we ne kituukirira, bwe yagamba nti:

“Nayita Omwana wange okuva mu Misiri.”

Okutta Abaana Abato

16Kerode bwe yalaba ng’Abagezigezi banyoomye ekiragiro kye, n’asunguwala nnyo, n’atuma abaserikale e Besirekemu ne mu byalo byakyo batte abaana bonna aboobulenzi ab’emyaka ebiri n’abatannagiweza, ng’asinziira ku bbanga abagezigezi lye baali bamutegeezeza mwe baalabira emmunyeenye. 17Awo ekigambo nnabbi Yeremiya kye yayogera ne kiryoka kituukirira ng’agamba nti,

18 j“Eddoboozi lyawulirwa mu Laama,
okukuba emiranga n’okukungubaga okunene,
nga Laakeeri akaabira abaana be,
nga tewakyali asobola kumuwooyawooya,
kubanga bonna baweddewo.”

Okuva e Misiri Okudda e Nazaaleesi

19 kKerode bwe yamala okufa malayika wa Mukama n’alabikira Yusufu mu kirooto e Misiri, 20n’amugamba nti, “Golokoka ozzeeyo Omwana ne nnyina mu Isirayiri, kubanga abaali baagala okutta Omwana bafudde.”

21Yusufu n’asitukiramu n’azzaayo Omwana ne nnyina mu nsi ya Isirayiri. 22 lNaye bwe yatuuka mu kkubo n’atya nnyo bwe yawulira nga Alukerawo
Alukerawo yali mutabani wa Kerode nga yafuga Buyudaaya ne Samaliya, era yafugira emyaka kkumi gyokka. Yali mukambwe nnyo ate nga wa ttima, kyeyava aggyibwa ku bufuzi, n’oluvannyuma ebitundu ebyo bye yafuganga, byafugibwa abaamasaza abaali balondeddwa Kayisaali.
mutabani wa Kerode ye yali alidde obwakabaka. Mukama n’amulabulira nate mu kirooto aleme kugenda Buyudaaya, bw’atyo n’alaga e Ggaliraaya
23 nn’atuuka mu kibuga ky’e Nazaaleesi, ne babeera omwo. Ebigambo bya bannabbi bye baayogera biryoke bituukirire nga bagamba nti: “Aliyitibwa Munnazaaleesi.”

Copyright information for LugEEEE